Add parallel Print Page Options

10 (A)Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 (B)n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.

Read full chapter

15 (A)Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;
    ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.
Yava ku Katonda eyamukola,
    n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
16 (B)Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala
    ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
17 (C)Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,
    eri bakatonda be batamanyangako,
    bakatonda abaggya abaali baakatuuka
    bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

Read full chapter

16 (A)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda ab’omu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo.

Read full chapter