Add parallel Print Page Options

(A)Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe[a] yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 26:5 Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo.

(A)Isaaka ne mmuwa Yakobo ne Esawu. Esawu ne mmuwa ensi ey’ensozi eya Seyiri. Naye Yakobo n’abaana be ne mbatwala e Misiri.

Read full chapter

23 (A)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
    Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.

Read full chapter

(A)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,

“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
    oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.

Read full chapter

15 (A)Bw’atyo Yakobo n’ajja e Misiri era n’afiira eyo ne bajjajjaffe.

Read full chapter