Add parallel Print Page Options

(A)Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.

Read full chapter

(A)Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.

Read full chapter