Add parallel Print Page Options

11 (A)Bwe banakkirizanga emirembe, ne bakuggulirawo emiryango gy’ekibuga kyabwe, kale abantu baamu bonna banaafuukanga baweereza bo, okukukoleranga byonna nga bw’onooyagalanga.

Read full chapter

(A)Abayisirayiri ne bawamba abakyala, n’abaana aboobulenzi, n’aboobuwala, emitwalo amakumi abiri ku baganda baabwe, ne babatwala nga basibe e Samaliya, ate ne babatwalako n’omunyago mungi.

(B)Awo Odedi nnabbi wa Mukama eyali eyo n’agenda okusisinkana eggye eryali lijja e Samaliya, n’abagamba nti, “Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyeyava abawaayo mu mukono gwammwe, kyokka mubasse n’ekiruyi n’okutuuka ne kituuka mu ggulu. 10 (C)Kaakano, abasajja n’abakazi aba Yuda ne Yerusaalemi mumaliridde, okubafuula abaddu bammwe. Naye bwe mmwekebera, temulina kye mwali musobezza Mukama Katonda wammwe? 11 (D)Kale nno, mumpulirize, muleke baganda bammwe be muwambye baddeyo ewaabwe, kubanga Mukama abasunguwalidde mmwe.”

12 Awo abamu ku bakadde ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanaani, ne Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Sallumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bayimirira okuziyiza abo abaali bava mu lutalo. 13 Ne babagamba nti, “Temujja kuleeta basibe abo wano, kubanga mujja kutuleetako omusango eri Mukama nga mwongereza ku kibi ne ku musango bye tulina. Omusango gwaffe munene, n’obusungu bwe buli ku Isirayiri.”

14 Awo abaserikale ne basumulula abasibe, n’omunyago ne baguwaayo mu maaso g’abakungu n’ekibiina kyonna. 15 (E)Ne balonda abasajja abaatwala abasibe ne baggya engoye mu munyago ne bambaza abo bonna abaali obwereere, ne babawa engoye endala, n’engatto, ne babawa emmere n’ekyokunywa, ne babanyiga n’ebiwundu. N’abaali abanafu ennyo bonna ne babasitulira ku ndogoyi, ne babazzaayo eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu, bo ne bakomawo e Samaliya.

Read full chapter

20 “Noolwekyo omulabe wo bw’alumwanga enjala, muliisenga; bw’alumwanga ennyonta muwenga ekyokunywa, bw’okola bw’otyo olimukumira amanda g’omuliro ku mutwe gwe.”

Read full chapter