Add parallel Print Page Options

(A)Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.

Read full chapter

(A)Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.

Read full chapter

29 (A)Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.

Read full chapter