Add parallel Print Page Options

28 (A)Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

Read full chapter

11 (A)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

Read full chapter

18 (A)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

Read full chapter

32 (A)Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
    n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
33 (B)naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,
    ng’agumye nga talina kutya kwonna.

Read full chapter

10 (A)Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,
    kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.
11 (B)Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!
Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.

Read full chapter

20 (A)Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo.

Read full chapter

14 (A)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

Read full chapter