Add parallel Print Page Options

16 (A)Noolwekyo mukomole emitima gyammwe, era mukomye okubeera n’amawagali.

Read full chapter

26 (A)Misiri, ne Yuda, ne Edomu, n’abaana ba Amoni, ne Mowaabu, era n’abo bonna ababeera mu ddungu mu bifo eby’ewala. Kubanga amawanga gano gonna ddala si makomole, ate era n’ennyumba ya Isirayiri yonna si nkomole mu mutima.”

Read full chapter

28 (A)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 (B)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.

Read full chapter

(A)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
    olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
    ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.

Read full chapter

(A)Munoonye Mukama munaabanga balamu
    aleme okubuubuuka ng’omuliro ku nnyumba ya Yusufu;
guligyokya
    nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri.

Read full chapter