Add parallel Print Page Options

(A)oba bw’anaazuulanga ebyali bibuze naye n’alimba; oba bw’anaalayiranga eby’obulimba, oba bw’anaayonoonanga mu bintu ng’ebyo byonna abantu mwe batera okwonoona, (B)bw’anaayonoonanga bw’atyo anaabangako omusango; kinaamusaaniranga okuzzaayo ebyo bye yabba oba bye yanyaga, oba bye yateresebwa oba ebyo ebyali bibuze naye n’abizuula, (C)oba ekintu kyonna kye yalayirirako eby’obulimba. Anaaliwanga mu bujjuvu era anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano eky’ebyo by’aliwa; bw’atyo anaabiddizanga nnyinibyo ku lunaku omuntu oyo lw’anaaleeterangako ekiweebwayo olw’omusango.

Read full chapter