Add parallel Print Page Options

26 (A)Kabona anaakiwangayo olw’ekibi y’anaakiryanga. Kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu mu luggya lwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 27 (B)Buli ekinaakoonanga ku nnyama y’ekiweebwayo ekyo, kinaafuukanga kitukuvu; era ogumu ku musaayi gwakyo bwe gunaamansukiranga ekyambalo, kinaayozerwanga mu kifo ekitukuvu. 28 (C)Ensaka ey’ebbumba mwe kinaafumbirwanga eneeyasibwanga; naye bwe kinaafumbirwanga mu nsaka ey’ekyuma, eneekuutibwanga n’emunyunguzibwamu n’amazzi.

Read full chapter