Add parallel Print Page Options

(A)“ ‘Singa Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ayonoona, bw’atyo abantu n’abaleetako omusango olw’ekibi ky’anaabanga akoze, anaaleeteranga Mukama ente ennume entoototo etaliiko kamogo, nga kye kiweebwayo eri Mukama olw’ekibi. (B)Sseddume eyo anaagireetanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu maaso ga Mukama; anaagikwatanga omutwe gwayo n’agittira awo mu maaso ga Mukama. (C)Awo kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni anaatoolangako ku musaayi gwa sseddume eyo n’aguleeta mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Read full chapter