Add parallel Print Page Options

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe

(A)“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. (B)Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. (C)Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. (D)Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

(E)“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. (F)Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, (G)anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10 n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 11 (H)Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

12 “ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; 13 (I)anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 14 Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 15 n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 16 (J)Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.

17 (K)“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

The Peace Offering

‘When his offering is a (A)sacrifice of a peace offering, if he offers it of the herd, whether male or female, he shall offer it (B)without [a]blemish before the Lord. And (C)he shall lay his hand on the head of his offering, and kill it at the door of the tabernacle of meeting; and Aaron’s sons, the priests, shall (D)sprinkle the blood all around on the altar. Then he shall offer from the sacrifice of the peace offering an offering made by fire to the Lord. (E)The fat that covers the entrails and all the fat that is on the entrails, the two kidneys and the fat that is on them by the flanks, and the fatty lobe attached to the liver above the kidneys, he shall remove; and Aaron’s sons (F)shall burn it on the altar upon the (G)burnt sacrifice, which is on the wood that is on the fire, as an (H)offering made by fire, a (I)sweet aroma to the Lord.

‘If his offering as a sacrifice of a peace offering to the Lord is of the flock, whether male or female, (J)he shall offer it without blemish. If he offers a (K)lamb as his offering, then he shall (L)offer it (M)before the Lord. And he shall lay his hand on the head of his offering, and kill it before the tabernacle of meeting; and Aaron’s sons shall sprinkle its blood all around on the altar.

‘Then he shall offer from the sacrifice of the peace offering, as an offering made by fire to the Lord, its fat and the whole fat tail which he shall remove close to the backbone. And the fat that covers the entrails and all the fat that is on the entrails, 10 the two kidneys and the fat that is on them by the flanks, and the fatty lobe attached to the liver above the kidneys, he shall remove; 11 and the priest shall burn them on the altar as (N)food, an offering made by fire to the Lord.

12 ‘And if his (O)offering is a goat, then (P)he shall offer it before the Lord. 13 He shall lay his hand on its head and kill it before the tabernacle of meeting; and the sons of Aaron shall sprinkle its blood all around on the altar. 14 Then he shall offer from it his offering, as an offering made by fire to the Lord. The fat that covers the entrails and all the fat that is on the entrails, 15 the two kidneys and the fat that is on them by the flanks, and the fatty lobe attached to the liver above the kidneys, he shall remove; 16 and the priest shall burn them on the altar as food, an offering made by fire for a sweet aroma; (Q)all the fat is the Lord’s.

17 This shall be a (R)perpetual[b] statute throughout your generations in all your dwellings: you shall eat neither fat nor (S)blood.’ ”

Footnotes

  1. Leviticus 3:1 imperfection or defect
  2. Leviticus 3:17 everlasting or never-ending