Add parallel Print Page Options

19 Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: 20 (A)obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. 21 (B)Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga.

Read full chapter