Add parallel Print Page Options

“Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna, (A)nga takireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.

10 (B)“Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne.

Read full chapter