Add parallel Print Page Options

14 (A)Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri.

Read full chapter

10 “Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.

Read full chapter

13 Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.

Read full chapter