Add parallel Print Page Options

37 (A)Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu.

Read full chapter

(A)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka.

Read full chapter

Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano:

Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero;

ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;

Firipo; ne Battolomaayo;

ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;

(A)ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.

Read full chapter

16 (A)Awo n’alonda ekkumi na babiri era be bano:

Simooni, gwe yatuuma “Peetero” ne

17 Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo, Yesu be yatuuma “Bowanerege” amakulu nti, “Abaana b’Okubwatuka.”

18 Andereya,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo

ne Saddayo,

ne Simooni, Omukananaayo,

19 ne Yuda Isukalyoti eyamulyamu olukwe.

Read full chapter

14 Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni,

ne Yakobo,

ne Yokaana,

ne Firipo,

ne Battolomaayo,

15 (A)ne Matayo,

ne Tomasi,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo,

ne Simooni, ow’omu kibiina ky’obufuzi eky’Abazerote,[a]

16 ne Yuda, omwana wa Yakobo,

ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:15 Abazerote baali balwanirizi ba ddembe nga baagala eggwanga lyabwe okwefuga babeere n’Obwakabaka obwabwe