Add parallel Print Page Options

(A)Era Katonda n’agamba nti, ‘Ndibonereza eggwanga eryo eriribafuula abaddu, n’oluvannyuma balivaayo ne bansinziza mu kifo kino.’

Read full chapter

32 (A)Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

33 (B)Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!” 34 Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe. 35 (C)Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo. 36 (D)Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.

Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri

37 (E)Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa. 38 (F)Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo.

Read full chapter