Ebikolwa by’Abatume 20:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 19:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)N’asindika babiri ku baamuyambanga, Timoseewo ne Erasuto e Makedoniya, ye n’asigala mu kitundu kya Asiya okumala ebbanga.
Read full chapter
Ebikolwa by’Abatume 19:26-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda. 27 Kino kya kabi gye tuli naye si mu Efeso mwokka naye ne mu kitundu kyonna ekya Asiya ne ku yeekaalu ya Atemi ne ku mukazi Oweekitiibwa Atemi. Kubanga ettutumu ly’alina lijja kumuggwaako, mu bitundu byonna ebya Asiya ne mu nsi gy’asinzibwa.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.