Add parallel Print Page Options

44 (A)Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 45 (B)Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 46 (C)Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa,

Read full chapter