Danyeri 9:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero.
Read full chapter

Ebikolwa by’Abatume 8:32-33
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:
“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (A)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
Ani alyogera ku bazzukulu be?
Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”

Isaaya 53:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kyendiva mmuwa ekifo eky’ekitiibwa mu bangi,
era aligabira bangi omunyago
kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa,
n’abalirwa wamu n’abakozi b’ebibi.
Era yeetikka ebibi by’abangi
era ne yeegayiririra abakozi b’ebibi.

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.