Add parallel Print Page Options

11 (A)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (B)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”

13 (C)Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda?

Read full chapter