Add parallel Print Page Options

Omuleevi ne mukazi we

19 (A)Awo mu biro ebyo tewaali kabaka mu Isirayiri.

Ne wabaawo Omuleevi eyabeeranga mu kyalo mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu eyawasa omukazi mu Besirekemu mu Yuda.

Read full chapter

Nawomi ne Luusi

(A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu. (B)Erinnya ly’omusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, n’amannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi[a] ab’e Besirekemu mu Yuda, bwe baatuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera omwo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:2 Erinnya Bayefulaasi liva mu nju Erimereki mw’asibuka. Erimereki yabbula erinnya Efulaasi okuva mu nnyumba ye mu kifo gye yali abeera, okumpi n’e Besirekemu (4:11; Lub 35:19; 1Sa 17:12; Mi 5:2)

(A)“Naye ggwe Besirekemu Efulasa,
    newaakubadde ng’oli mutono mu bika bya Yuda,
mu ggwe mwe muliva alibeera
    omufuzi wange mu Isirayiri.
Oyo yaliwo okuva edda n’edda,
    ng’ensi tennabaawo.”

Read full chapter

Okukyala kw’Abagezigezi

(A)Yesu bwe yazaalibwa mu kibuga Besirekemu eky’omu Buyudaaya, ku mulembe gwa Kabaka Kerode, abasajja abagezigezi, abaava ebuvanjuba ne bajja mu Yerusaalemi, nga babuuza nti,

Read full chapter