Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Read Scripture without ads. Study with fewer distractions with Bible Gateway Plus.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Verse of the Day by email. Sign up free.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Balam 20  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini

20 (A)Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. 2 (B)Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. 3 Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”

4 (C)Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. 5 (D)Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. 6 (E)Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. 7 (F)Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”

8 Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. 9 (G)Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. 10 Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” 11 (H)Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.

12 Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? 13 (I)Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”

Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. 14 Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. 15 Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. 16 (J)Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.

17 Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. 18 (K)Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”

19 Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. 20 Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. 21 (L)Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. 22 Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. 23 (M)Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”

24 Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. 25 (N)Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.

26 (O)Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. 27 (P)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga essanduuko ey’endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, 28 (Q)nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”

29 (R)Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30 Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 31 (S)Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.

32 (T)Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 33 (U)Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 34 (V)Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 35 (W)Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 36 (X)Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.

Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 37 (Y)Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 38 (Z)Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, 39 (AA)abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.

Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” 40 (AB)Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. 41 Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. 42 Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. 43 Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. 44 (AC)Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. 45 (AD)Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.

46 Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. 47 Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. 48 (AE)Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.

Cross references

  1. 20:1 : a Bal 21:5 b 1Sa 3:20; 2Sa 3:10; 1Bk 4:25 c 1Sa 11:7 d 1Sa 7:5
  2. 20:2 : Bal 8:10
  3. 20:4 : a Yos 15:57 b Bal 19:15
  4. 20:5 : a Bal 19:22 b Bal 19:25-26
  5. 20:6 : a Bal 19:29 b Yos 7:15; Bal 19:23
  6. 20:7 : Bal 19:30
  7. 20:9 : Lv 16:8
  8. 20:11 : nny 1
  9. 20:13 : a Ma 13:13; Bal 19:22 b Ma 17:12
  10. 20:16 : Bal 3:15; 1By 12:2
  11. 20:18 : a nny 26-27; Kbl 27:21 b Kbl 27:23, 28
  12. 20:21 : nny 25
  13. 20:23 : a Yos 7:6 b nny 18
  14. 20:25 : nny 21
  15. 20:26 : a nny 23 b Bal 21:4
  16. 20:27 : Yos 18:1
  17. 20:28 : a Yos 24:33 b Ma 18:5 c Bal 7:9
  18. 20:29 : Yos 8:2, 4
  19. 20:31 : Yos 8:16
  20. 20:32 : nny 39
  21. 20:33 : Yos 8:19
  22. 20:34 : a Yos 8:14 b Is 47:11
  23. 20:35 : 1Sa 9:21
  24. 20:36 : Yos 8:15
  25. 20:37 : Yos 8:19
  26. 20:38 : Yos 8:20
  27. 20:39 : nny 32
  28. 20:40 : Yos 8:20
  29. 20:44 : Zab 76:5
  30. 20:45 : Yos 15:32; Bal 21:13
  31. 20:48 : Bal 21:23
Next
Balam 19
Balam 21
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway