Menu
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
account
Welcome to the new Bible Gateway. Take a quick tour and see what’s new.
Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo
Finding your way around? Take the tour.
  • Read
    • Reading Plans
    • Advanced Search
    • Available Versions
    • Audio Bibles
  • Study
    • Scripture Engagement
    • More Resources
  • News
  • Explore
    • Newsletters
    • Devotionals
    • Bible Gateway App
    • Bible Audio App
    • Take a Tour
  • Store
    • Bibles
    • Deals
    • More
  • Bible Gateway Plus
LCB
Version
Bible Books Bible Books
LCB
Version
Read
Study
News
Explore
Store
Bible Gateway Plus
Light Mode Dark Mode
Font Size
Log In show menu
Previous Next
Print PrintSettingsSettingsShare ShareParallelParallelExpandExpandCollapse

Balam 10  Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Okufuga kwa Toola

10 (A)Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi. 2 N’akulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu esatu, n’aziikibwa mu Samiri.

Okufuga kwa Yayiri

3 Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri. 4 (B)Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero. 5 Yayiri n’afa n’aziikibwa mu Kamoni.

Okufuga kwa Yefusa

6 (C)Abayisirayiri ne beeyongera okukola ebibi mu maaso ga Mukama, nga baweereza Babaali ne Asutoleesi ne bakatonda ab’e Busuuli, ne bakatonda ab’e Sidoni, ne bakatonda ab’e Mowaabu, ne bakatonda ab’abaana ba Amoni, ne bakatonda b’Abafirisuuti, ne bava ku Mukama ne batamuweereza. 7 (D)Mukama Katonda n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni, 8 abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi. 9 Abaana ba Amoni nabo ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda ne Benyamini, n’ennyumba ya Efulayimu. Isirayiri ne yeeraliikirira nnyo. 10 (E)Awo abaana ba Isirayiri ne bakaabira Mukama nga bagamba nti, “Ddala ddala twasobya, ne tuva ku Mukama Katonda waffe, ne tuweereza Babaali.”

11 (F)Mukama Katonda n’addamu abaana ba Isirayiri nti, “Abamisiri n’Abamoli, n’abaana ba Amoni, n’Abafirisuuti, 12 (G)n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni,[a] bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe? 13 Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate. 14 (H)Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”

15 (I)Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano. 16 (J)Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”

17 (K)Awo abaana ba Amoni ne basiisira mu Gireyaadi, n’abaana ba Isirayiri nabo ne basiisira mu Mizupa. 18 (L)Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”

Footnotes

  1. 10:12 Abamawoni abo baali ba njawulo ku bantu abaabeeranga mu Mawoni ekya Yuda.

Cross references

  1. 10:1 : a Lub 30:18 b Lub 46:13 c Bal 2:16; 6:14
  2. 10:4 : Kbl 32:41
  3. 10:6 : a Bal 2:11 b Bal 2:13 c Bal 2:12 d Ma 32:15
  4. 10:7 : a Ma 31:17 b Ma 32:30; Bal 2:14; 1Sa 12:9
  5. 10:10 : 1Sa 12:10
  6. 10:11 : a Kuv 14:30 b Kbl 21:21; Bal 3:13 c Bal 3:31
  7. 10:12 : Zab 106:42
  8. 10:14 : Ma 32:37
  9. 10:15 : 1Sa 3:18; 2Sa 15:26
  10. 10:16 : a Yos 24:23; Yer 18:8 b Is 63:9 c Ma 32:36; Zab 106:44-45
  11. 10:17 : Lub 31:49; Bal 11:29
  12. 10:18 : Bal 11:8, 9
Next
Balam 9
Balam 11
Next
dropdown
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Bible Gateway Plus logo
Bible Gateway logo

Font Size

Font Size

Dark Mode

Light Mode Dark Mode

About

  • About
  • Learn About the Bible
  • Statement of Faith
  • Mobile App
  • Store
  • Blog
  • Newsroom
  • Support Us

Help

  • FAQs
  • Tutorials
  • Use Bible Gateway on Your Site
  • Advertise with us
  • Contact us
  • Privacy policy
  • California Privacy Rights
  • Do Not Sell My Personal Information
  • Site: Terms of use
  • Widget: Terms of use

Our Network

  • FaithGateway
  • StudyGateway
  • ChurchSource
  • HarperCollins Christian Publishing
  • Grupo Nelson
  • Editorial Vida
  • Thomas Nelson
  • WestBow Press
  • Zondervan
  • MasterLectures

Social

  • Facebook
  • Instagram
  • Pinterest
  • TikTok
  • X
  • YouTube

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway
Sign Up for Bible Gateway: News & Knowledge
Get weekly Bible news, info, reflections, and deals in your inbox.

By submitting your email address, you understand that you will receive email communications from Bible Gateway, operated by HarperCollins Christian Publishing, 501 Nelson Pl, Nashville, TN 37214 USA, including commercial communications and messages from partners of Bible Gateway. You may unsubscribe from Bible Gateway’s emails at any time. If you have any questions, please review our Privacy Policy or email us at privacy@biblegateway.com.

Preferences

  • Versión en español
  • Preferences
  • Classic Bible Gateway