Add parallel Print Page Options

(A)Laba, ajja n’ebire,
    na buli liiso lirimulaba,
n’abaamufumita balimulaba,
    era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.
Weewaawo. Amiina!

(B)“Nze Alufa ne Omega,”[a] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Oyo eyali ng’Omwana w’Omuntu

(C)Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:8 Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero