Add parallel Print Page Options

Mukama anenya abali mu Mirembe

(A)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
    n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
    abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
(B)Mugende mulabe e Kalune;
    muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
    ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
    Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
(C)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
    ate ne musembeza effugabbi.
(D)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
    ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
    n’ey’ennyana ensava.
(E)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
    ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
(F)Mwekatankira wayini,
    ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
    naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
    Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.

(G)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,

“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
    nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
    ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”

(H)Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10 (I)Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”

11 (J)Laba Mukama alagidde,
    ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,
    n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.

12 (K)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
    Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
    n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 (L)Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
    Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”

14 (M)Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,
    “Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;
liribajooga ebbanga lyonna
    okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”

Woe to the Complacent

Woe to you(A) who are complacent(B) in Zion,
    and to you who feel secure(C) on Mount Samaria,(D)
you notable men of the foremost nation,
    to whom the people of Israel come!(E)
Go to Kalneh(F) and look at it;
    go from there to great Hamath,(G)
    and then go down to Gath(H) in Philistia.
Are they better off than(I) your two kingdoms?
    Is their land larger than yours?
You put off the day of disaster
    and bring near a reign of terror.(J)
You lie on beds adorned with ivory
    and lounge on your couches.(K)
You dine on choice lambs
    and fattened calves.(L)
You strum away on your harps(M) like David
    and improvise on musical instruments.(N)
You drink wine(O) by the bowlful
    and use the finest lotions,
    but you do not grieve(P) over the ruin of Joseph.(Q)
Therefore you will be among the first to go into exile;(R)
    your feasting and lounging will end.(S)

The Lord Abhors the Pride of Israel

The Sovereign Lord has sworn by himself(T)—the Lord God Almighty declares:

“I abhor(U) the pride of Jacob(V)
    and detest his fortresses;(W)
I will deliver up(X) the city
    and everything in it.(Y)

If ten(Z) people are left in one house, they too will die. 10 And if the relative who comes to carry the bodies out of the house to burn them[a](AA) asks anyone who might be hiding there, “Is anyone else with you?” and he says, “No,” then he will go on to say, “Hush!(AB) We must not mention the name of the Lord.”

11 For the Lord has given the command,
    and he will smash(AC) the great house(AD) into pieces
    and the small house into bits.(AE)

12 Do horses run on the rocky crags?
    Does one plow the sea[b] with oxen?
But you have turned justice into poison(AF)
    and the fruit of righteousness(AG) into bitterness(AH)
13 you who rejoice in the conquest of Lo Debar[c]
    and say, “Did we not take Karnaim[d] by our own strength?(AI)

14 For the Lord God Almighty declares,
    “I will stir up a nation(AJ) against you, Israel,
that will oppress you all the way
    from Lebo Hamath(AK) to the valley of the Arabah.(AL)

Footnotes

  1. Amos 6:10 Or to make a funeral fire in honor of the dead
  2. Amos 6:12 With a different word division of the Hebrew; Masoretic Text plow there
  3. Amos 6:13 Lo Debar means nothing.
  4. Amos 6:13 Karnaim means horns; horn here symbolizes strength.