Saul Ravages the Church

And (A)Saul (B)approved of his execution.

And there arose on that day a great persecution against the church in Jerusalem, and (C)they were all scattered throughout the regions of Judea and Samaria, except the apostles. Devout men buried Stephen and made great lamentation over him. But (D)Saul was ravaging the church, and entering house after house, he (E)dragged off men and women and committed them to prison.

Philip Proclaims Christ in Samaria

Now (F)those who were scattered went about preaching the word. (G)Philip went down to the city[a] of Samaria and proclaimed to them the Christ. (H)And the crowds with one accord paid attention to what was being said by Philip, when they heard him (I)and saw the signs that he did. For (J)unclean spirits, crying out with a loud voice, came out of many who had them, and many who were paralyzed or lame were healed. So (K)there was much joy in that city.

Simon the Magician Believes

But there was a man named Simon, (L)who had previously practiced magic in the city and amazed the people of Samaria, (M)saying that he himself was somebody great. 10 They all paid attention to him, from the least to the greatest, saying, (N)“This man is the power of God that is called (O)Great.” 11 And they paid attention to him because for a long time he had (P)amazed them with his magic. 12 But when (Q)they believed Philip as he preached good news (R)about the kingdom of God and the name of Jesus Christ, (S)they were baptized, both men and women. 13 Even Simon himself believed, and after being baptized he continued with Philip. And (T)seeing signs and (U)great miracles[b] performed, (V)he was amazed.

14 Now when (W)the apostles at Jerusalem heard that (X)Samaria had received the word of God, they sent to them Peter and John, 15 who came down and prayed for them (Y)that they might receive the Holy Spirit, 16 for (Z)he had not yet (AA)fallen on any of them, but (AB)they had only been baptized in the name of the Lord Jesus. 17 Then (AC)they laid their hands on them and (AD)they received the Holy Spirit. 18 Now when Simon saw that the Spirit was given through the laying on of the apostles' hands, he offered them money, 19 saying, “Give me this power also, so that anyone on whom I lay my hands may receive the Holy Spirit.” 20 But Peter said to him, (AE)“May your silver perish with you, because you thought you could obtain the gift of God (AF)with money! 21 You have neither part nor lot in this matter, for (AG)your heart is not right before God. 22 Repent, therefore, of this wickedness of yours, and pray to the Lord that, (AH)if possible, the intent of your heart may be forgiven you. 23 For I see that you are in (AI)the gall[c] of bitterness and in (AJ)the bond of iniquity.” 24 And Simon answered, (AK)“Pray for me to the Lord, that nothing of what you have said may come upon me.”

25 Now when they had testified and spoken the word of the Lord, they returned to Jerusalem, (AL)preaching the gospel to many villages of the Samaritans.

Philip and the Ethiopian Eunuch

26 Now (AM)an angel of the Lord said to Philip, “Rise and go toward the south[d] to the road that goes down from Jerusalem to Gaza.” This is a desert place. 27 And he rose and went. And there was an (AN)Ethiopian, a (AO)eunuch, a court official of Candace, queen of the Ethiopians, (AP)who was in charge of all her treasure. (AQ)He had come to Jerusalem to worship 28 and was returning, seated in his chariot, and he was reading the prophet Isaiah. 29 And the Spirit said to Philip, “Go over and join this chariot.” 30 So Philip ran to him and heard him reading Isaiah the prophet and asked, “Do you understand what you are reading?” 31 And he said, (AR)“How can I, unless someone (AS)guides me?” And (AT)he invited Philip to come up and sit with him. 32 Now the passage of the Scripture that he was reading was this:

(AU)“Like a sheep he was led to the slaughter
    and like a lamb before its shearer is silent,
    so he opens not his mouth.
33 In his (AV)humiliation justice was denied him.
    Who can describe his generation?
For his life is taken away from the earth.”

34 And the eunuch said to Philip, “About whom, I ask you, does the prophet say this, about himself or about someone else?” 35 Then Philip opened his mouth, and (AW)beginning with this Scripture (AX)he told him the good news about Jesus. 36 And as they were going along the road they came to some water, and the eunuch said, “See, here is water! (AY)What prevents me from being baptized?”[e] 38 And he commanded the chariot to stop, and they both went down into the water, Philip and the eunuch, and he baptized him. 39 And when they came up out of the water, (AZ)the Spirit of the Lord (BA)carried Philip away, and the eunuch saw him no more, and went on his way rejoicing. 40 But Philip found himself at Azotus, and as he passed through he preached the gospel to all the towns until he came to Caesarea.

Footnotes

  1. Acts 8:5 Some manuscripts a city
  2. Acts 8:13 Greek works of power
  3. Acts 8:23 That is, a bitter fluid secreted by the liver; bile
  4. Acts 8:26 Or go at about noon
  5. Acts 8:36 Some manuscripts add all or most of verse 37: And Philip said, “If you believe with all your heart, you may.” And he replied, “I believe that Jesus Christ is the Son of God.”

Ekkanisa Eyigganyizibwa

(A)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.

Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya. Abantu ba Katonda ne baggyawo Suteefano ne bamutwala ne bamuziika mu kwaziirana okungi. (B)Naye Sawulo n’akolerera okuzikiriza Ekkanisa; n’agenda buli wantu ng’akwata abasajja n’abakazi n’abatwala mu kkomera.

Firipo Abuulira mu Samaliya

(C)Naye abakkiriza abadduka mu Yerusaalemi ne bagenda mu buli kifo nga babuulira Enjiri ya Yesu. (D)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo. Ebibiina ne bimuwuliriza nnyo kubanga abantu bonna baalaba ebyamagero bye yakola. (E)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa; ekibuga ne kijjula essanyu.

Simooni Omufumu

(F)Waaliwo omusajja erinnya lye Simooni eyali omufumu omwatiikirivu mu kibuga omwo era nga yeewuunyisa nnyo abantu bonna mu Samaliya. Yeeyogerangako nti muntu mukulu era wa kitiibwa. 10 (G)Era abantu bangi ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa baamwogerangako nti, “Omusajja oyo ge maanyi ga Katonda agayitibwa, ‘Amangi.’ ” 11 Ne bamussangako nnyo omwoyo olw’ebyobufuusa bye yakolanga. 12 (H)Naye bwe bakkiriza obubaka bwa Firipo ng’abuulira ku bwakabaka bwa Katonda n’erinnya lya Yesu Kristo abasajja n’abakazi ne babatizibwa. 13 (I)Awo ne Simooni yennyini n’akkiriza era n’abatizibwa, n’agobereranga Firipo buli gye yalaganga; era ebyamagero Firipo bye yakolanga, Simooni n’abyewuunya nnyo.

14 (J)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (K)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (L)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (M)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.

18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”

20 (N)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (O)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”

24 (P)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”

25 (Q)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.

Firipo n’Omwesiyopya

26 (R)Awo malayika wa Mukama n’agamba Firipo nti, “Kwata ekkubo eriraga mu bukiikaddyo, eriva e Yerusaalemi nga liyita mu ddungu okugenda e Ggaaza.” 27 (S)Firipo n’akwata ekkubo eryo. Mu kiseera ekyo waaliwo omusajja Omwesiyopya mu kkubo eryo ng’ava mu kusinza e Yerusaalemi. Yali mulaawe nga mukungu mu lubiri lwa Kandake, kabaka omukazi owa Esiyopya, era ye yali omuwanika we omukulu. 28 Yali atudde mu ggaali lye ng’addayo ewaabwe nga bw’asoma ekitabo kya nnabbi Isaaya. 29 (T)Awo Mwoyo Mutukuvu n’agamba Firipo nti, “Semberera eggaali eryo oligendereko.”

30 Firipo n’adduka n’atuuka ku ggaali, n’awulira Omwesiyopya ng’asoma mu kitabo kya nnabbi Isaaya. N’amubuuza nti, “By’osoma obitegeera?”

31 Omwesiyopya n’addamu nti, “Nnaabitegeera ntya nga sirina abinnyinnyonnyola?” N’asaba Firipo ayingire mu ggaali lye batuule bombi.

32 Ekyawandiikibwa kye yali asoma nga kigamba bwe kiti nti:

“Yatwalibwa ng’endiga egenda okuttibwa.
    Ng’omwana gw’endiga bwe gusiriikirira nga bagusalako ebyoya,
    naye bw’atyo teyayasamya kamwa ke.
33 (U)Yajoogebwa n’atalamulwa mu bwenkanya.
    Ani alyogera ku bazzukulu be?
    Kubanga ekiseera kye eky’obulamu bwe ku nsi kyakoma!”

34 Omulaawe kwe kubuuza Firipo nti, “Nnyinnyonnyola, munnange, nnabbi gw’ayogerako; yeeyogerako yekka oba ayogera ku mulala?” 35 (V)Awo Firipo n’atandika n’Ekyawandiikibwa ekyo n’amubuulira Enjiri ya Yesu Kristo.

36 (W)Bwe baali bagenda ne batuuka awali amazzi, omulaawe n’agamba nti, “Laba amazzi! Kale lwaki sibatizibwa?” 37 Awo Firipo n’amugamba nti, “Oyinza okubatizibwa, bw’oba ng’okkiriza n’omutima gwo gwonna.” Omulaawe n’addamu nti, “Nzikiriza nga Yesu Kristo Mwana wa Katonda.” 38 Awo n’alagira omugoba w’eggaali lye okuyimirira, ne bakka mu mazzi, Firipo n’amubatiza. 39 (X)Bwe baava mu mazzi amangwago Omwoyo wa Mukama n’atwala Firipo, Omulaawe n’ataddayo kumulaba nate, naye n’atambula olugendo lwe ng’ajjudde essanyu. 40 (Y)Naye Firipo n’alabikira mu Azoto, n’agenda ng’abuulira Enjiri mu bibuga byonna eby’omu kitundu ekyo okutuukira ddala e Kayisaliya.