Add parallel Print Page Options

18 (A)Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu. 19 (B)Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu nti, “Mmwe muba musalawo obanga kituufu mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga okuwulira Katonda. 20 Tetuyinza butayogera ku bintu bye twalaba, n’ebigambo bye twawulira.”

21 (C)Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo. 22 Omusajja eyawonyezebwa yali assussa mu myaka amakumi ana.

Read full chapter