Ebikolwa by’Abatume 17:1-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Pawulo mu Sessaloniika
17 (A)Awo ne batambula ne bayita mu bibuga Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Sessaloniika, omwali ekkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya. 2 (B)Pawulo, ng’empisa ye bwe yali, n’agenda n’ababuuliranga ekigambo kya Katonda okuva mu byawandiikibwa, ku buli lwa Ssabbiiti okumala Ssabbiiti ssatu. 3 (C)N’abannyonnyola era n’abalaga nga bwe kyali kyetaagisa Kristo okubonaabona n’okuzuukira mu bafu, era nti, “Oyo ye Kristo Yesu gwe mbabuulira.” 4 (D)Abamu ku Bayudaaya abaamuwuliriza ne bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira; era n’Abayonaani bangi abatya Katonda awamu n’abakazi bangi ab’ekitiibwa mu kibuga ekyo.
5 (E)Naye Abayudaaya ne bakwatibwa obuggya, ne bagenda nga bafukuutirira abantu ab’empisa embi ne babaggya mu nguudo z’omu kibuga ne mu katale, ne batandikawo akasasamalo mu kibuga. Ne balumbagana amaka ga Yasooni nga banoonyaamu Pawulo ne Siira babatwale mu kibiina ky’abantu. 6 (F)Bwe baababulwa, kwe kukwata Yasooni n’abooluganda abamu ne babaleeta mu maaso g’abakulu b’ekibuga, nga bwe baleekaana nti, “Pawulo ne Siira batabuddetabudde ebifo ebirala mu nsi yonna, ne kaakano bazze wano batabuletabule ekibuga kyaffe, 7 (G)era Yasooni oyo y’abaaniriza mu maka ge. Bano bonna bazizza omusango ogw’okuseeketerera eggwanga ne bamenya amateeka ga Kayisaali nga bayimbirira kabaka omulala Yesu.” 8 Ekibiina n’abakulu b’ekibuga bwe baawulira ebintu ebyo ne basasamala. 9 (H)Bwe baamala okusasuza Yasooni ne banne omutango, ne babaleka ne bagenda.
Pawulo mu Beroya
10 (I)Obudde bwe bwaziba abooluganda ne bafulumya Pawulo ne Siira mu kibuga ne babaweereza e Beroya. Bwe baatuuka eyo ne bagenda mu kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya okusinza n’okubuulira, nga bwe yali empisa yaabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.