Add parallel Print Page Options

29 (A)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
    era twandifaananye nga Ggomola.”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

30 (B)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (C)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?

Read full chapter