Add parallel Print Page Options

27 (A)Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,
    ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.
28 (B)Kubanga Mukama alisalawo
    era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”

29 (C)Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo zzadde,
twandifuuse nga Sodomu,
    era twandifaananye nga Ggomola.”

Read full chapter