Add parallel Print Page Options

(A)Kikafuuwe, kubanga ffe abaafa eri ekibi tuyinza tutya okweyongera okukikola? (B)Oba temumanyi nga bonna bwe baabatizibwa mu Yesu Kristo, baafiira wamu naye? (C)Bwe twabatizibwa twaziikibwa wamu ne Kristo. Nga Kristo bwe yazuukizibwa okuva mu bafu olw’ekitiibwa kya Kitaawe, naffe twafuna obulamu obuggya, era bwe tutyo tutambulirenga mu bulamu obwo obuggya.

(D)Obanga twegatta wamu naye mu kifaananyi eky’okufa kwe, bwe tutyo bwe tulyegattira awamu naye mu kuzuukira kwe. (E)Tumanyi kino nti omuntu waffe ow’edda yakomererwa wamu naye ku musaalaba, omubiri gw’ekibi guleme kuba gwa mugaso, tuleme kuddamu kuba baddu ba kibi. Omuntu bw’afa aba takyafugibwa kibi.

Naye obanga twafiira wamu ne Kristo, tukkiriza nga tuliba balamu wamu naye (F)Tumanyi nti, nga Kristo bwe yazuukizibwa mu bafu, takyafa nate, okufa tekukyamufuga. 10 (G)Okufa kwe yafa eri ekibi, yafa omulundi gumu, naye kaakano mulamu era mulamu ku bwa Katonda.

11 (H)Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okuba abaafiira ddala eri ekibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.

Read full chapter