Abaruumi 5:18-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Kale ng’abantu bonna bwe baasalirwa omusango olw’ekibi ekimu, bwe kityo n’olw’ekikolwa ekimu eky’obutuukirivu abantu bonna mwe baaweerwa obutuukirivu ne bafuna obulamu. 19 (B)Obujeemu bw’omuntu omu bwafuula abangi okuba aboonoonyi. Bwe butyo n’obuwulize bw’omuntu omu Yesu, bulifuula bangi okuba abatuukirivu.
20 (C)Amateeka gaatekebwawo, amaanyi g’ekibi galyoke galabisibwe. Kyokka ekibi bwe kyeyongera, ekisa kya Katonda kyo ne kyeyongera nnyo okusingawo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.