Add parallel Print Page Options

Tewali mutuukirivu n’omu

(A)Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10 Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.
11     Tewali ategeera
    wadde anoonya Katonda.
12 (B)Bonna baakyama,
    bonna awamu baafuuka kitagasa;
tewali n’omu akola obulungi,
    tewali n’omu.”
13 (C)“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,
    n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”
“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”
14     (D)“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”
15 “Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,
16     buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.
17 Tebamanyi kkubo lya mirembe.”
18     (E)“N’okutya tebatya Katonda.”

19 (F)Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya.

Read full chapter

32 (A)Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

Read full chapter