Abaebbulaniya 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kristo yeewaayo omulundi gumu ku lwa bonna
10 (A)Amateeka kisiikirize busiikirize eky’ebirungi ebigenda okujja, go ku bwagwo tegamala, kubanga ssaddaaka ezo ze zimu eza buli mwaka ze bawaayo obutayosa ezitayinza kutukuza abo abaziwaayo. 2 Ssaddaaka ezo zandibadde tezikyaweebwayo, kubanga abaaziwaayo, omulundi ogumu gwandibamaze okubatukuza, ne bataddayo kweraliikirira olw’ebibi byabwe. 3 (B)Naye ssaddaaka eza buli mwaka zaabajjukizanga ebibi byabwe. 4 (C)Kubanga omusaayi gw’ente ennume n’embuzi tegusobola kuggyawo bibi.
5 (D)Noolwekyo Kristo bwe yali ng’ajja mu nsi kyeyava agamba nti,
“Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Naye wanteekerateekera omubiri.
6 Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
tewabisiima.
7 (E)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”
8 (F)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, 9 (G)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri. 10 (H)Twatukuzibwa olw’okwagala kwe, omubiri gwa Yesu Kristo bwe gwaweebwayo omulundi ogumu ku lwaffe ffenna.
11 (I)Buli kabona ayimirira buli lunaku ng’aweereza, n’awaayo ssaddaaka mu ngeri y’emu, ezitayinza kuggyawo bibi, 12 naye Kristo bwe yamala okuwaayo ssaddaaka ey’emirembe gyonna, olw’ebibi, n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 13 (J)Okuva mu kiseera kino alindirira abalabe be bafuulibwe entebe y’ebigere bye. 14 (K)Kubanga olw’ekiweebwayo ekyo ekimu, abaatukuzibwa yabawa obutuukirivu obw’emirembe gyonna.
15 (L)Mwoyo Mutukuvu naye akikakasa bw’ayogera nti,
16 (M)“Eno y’endagaano gye ndikola nabo,
oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Nditeeka amateeka gange ku mitima gyabwe,
era ndiwandiika amateeka gange mu myoyo gyabwe.”
17 (N)Ayongerako kino nti,
“Sirijjukira nate bibi byabwe
newaakubadde obujeemu bwabwe.”
18 Naye kaakano awali okusonyiyibwa ebintu ebyo, waba tewakyali kyetaagisa kuwaayo kiweebwayo olw’ebibi.
Obugumiikiriza
19 (O)Kale abooluganda nga bwe tulina obuvumu okuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu olw’omusaayi gwa Yesu, 20 (P)eyatuggulirawo ekkubo eriggya era eddamu eriyita mu lutimbe, gwe mubiri gwe, 21 (Q)kale nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu nga y’afuga ennyumba ya Katonda, 22 (R)tusembere awali Katonda n’omwoyo ogw’amazima ogujjudde okukkiriza nga tulina emitima egitukuzibbwa okuva mu ndowooza embi, era nga n’emibiri gyaffe ginaazibbwa n’amazzi amatukuvu. 23 (S)Kale tunyweze essuubi lye twatula nga tetusagaasagana, kubanga eyasuubiza mwesigwa, 24 era tussengayo omwoyo buli muntu eri munne, nga twekubiriza mu kwagala ne mu kukola ebikolwa ebirungi. 25 (T)Tuleme kulekayo kukuŋŋaana, ng’abamu bwe bakola, naye buli muntu agumye munne, na ddala nga bwe mulaba nti, Olunaku lw’okudda kwa Mukama waffe lusembedde.
26 (U)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi. 27 (V)Wabula ekiba kisigadde kwe kulindirira okusalirwa omusango ogw’ekibonerezo eky’omuliro ogw’amaanyi ogugenda okumalawo abalabe ba Katonda. 28 (W)Omuntu yenna eyajeemeranga amateeka ga Musa yattibwanga awatali kusaasirwa, bwe waabangawo abajulirwa babiri oba basatu abamulumiriza. 29 (X)Noolwekyo omuntu alinnyirira Omwana wa Katonda, era n’omusaayi gw’endagaano ogunaazaako ebibi n’aguyisa ng’ogwa bulijjo, era n’anyoomoola Omwoyo ow’ekisa, talibonerezebwa n’obukambwe obusingawo? 30 (Y)Kubanga tumumanyi oyo eyagamba nti, “Okuwoolera eggwanga kwange. Nze ndisasula.” Era nti, “Mukama y’aliramula abantu be.” 31 (Z)Kintu kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu!
32 (AA)Mujjukire ennaku ez’edda bwe mwategeera Kristo, ne mugumiikiriza okubonyaabonyezebwa okw’amaanyi. 33 (AB)Oluusi mwavumibwanga era ne muyigganyizibwa mu lwatu, ate olulala ne mussa kimu n’abo abaabonaabona nga mmwe. 34 Mwalumirwa wamu n’abasibe, era mwagumiikiriza n’essanyu bwe mwanyagibwako ebyammwe kubanga mwamanya nti mulina ebisinga obulungi era eby’olubeerera ebibalindiridde.
35 Kale munywererenga ku buvumu bwammwe bwe mulina, obuliko empeera ennene. 36 (AC)Kubanga kibasaanira okugumiikiriza nga mukola Katonda by’ayagala mulyoke mufune ebyo bye yasuubiza.
37 (AD)Wasigadde akaseera katono nnyo,
oyo ow’okujja ajje era talirwa.
38 (AE)Omutuukirivu wange, anaabanga mulamu lwa kukkiriza,
kyokka bw’adda emabega simusanyukira.
39 Naye ffe tetuli ba kudda mabega mu kuzikirira, wabula tulina okukkiriza okunywevu okutuleetera okulokoka.
希伯来书 10
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
永远的赎罪祭
10 律法只是将来美事的一个投影,并非本体的真像,所以年复一年的献祭不能使前来敬拜的人纯全。 2 否则,献祭的事早已终止了,因为敬拜的人若献一次祭就能彻底得到洁净,他们就不再觉得有罪了。 3 然而,每年献祭的事都使人想起自己的罪来, 4 因为公牛和山羊的血根本不能除去人的罪。
5 所以,基督来到世上的时候曾说:
“上帝啊,祭物和供物非你所悦,
你为我预备了身体。
6 你并非喜爱燔祭和赎罪祭。
7 于是我说,
‘上帝啊,我来是要遵行你的旨意,
我的事都记在圣经上了。’”
8 基督首先说:“祭物、供物、燔祭和赎罪祭都不是你想要的,也不是你喜悦的。”这些都是依照律法献上的。 9 然后祂又说:“我来是要遵行你的旨意。”这样,祂废除了前者,为要设立后者。 10 上帝的旨意是:耶稣基督只一次献上自己的身体,便使我们永远圣洁了。
11 祭司都要天天站着供职,一次次地献上同样的祭物,只是这些祭物根本不能除罪。 12 而基督一次献上自己成为永远的赎罪祭后,就坐在上帝的右边, 13 等待祂的仇敌成为祂的脚凳。 14 祂凭自己的一次牺牲,使那些得以圣洁的人永远纯全。
15 圣灵也向我们做见证,说:
16 “主说,那些日子以后,
我将与他们立这样的约,
我要把我的律例放在他们心中,
写在他们脑中。
17 我要忘记他们的过犯和罪恶。”
18 既然过犯和罪恶已经得到赦免,就不需要再为罪献祭了。
坚忍到底
19-20 弟兄姊妹,耶稣已用宝血为我们开辟了一条又新又活的路,使我们可以穿过幔子,就是祂的身体,坦然进入至圣所。 21 并且,我们有一位大祭司管理上帝的家, 22 祂洁净了我们被罪困扰的良心,用清水洗净了我们的身体。因此,我们要信心十足、真诚地到上帝面前。 23 我们要坚定不移地持守我们所认定的盼望,因为赐应许的那位是信实的。 24 我们要想办法彼此相顾,激发爱心,勉励行善。 25 不要停止聚会,像那些停止惯了的人,要互相鼓励,特别是你们知道主再来的日子近了。
26 因为我们知道了真理以后,若仍然故意犯罪,就再没有赎罪祭了, 27 只有可怕的审判和烧灭敌对者的烈火等候我们。 28 人违犯摩西的律法,经两三个人指证后,尚且被毫不留情地处死, 29 更何况人践踏上帝的儿子,轻看那使人圣洁的立约之血,又藐视赐人恩典的圣灵?这等人该受多么重的刑罚啊! 30 我们知道上帝说过:“申冤在我,我必报应。”祂又说:“主要审判祂的百姓。” 31 落在永活上帝的手中是可怕的!
32 你们要回想当初的日子,那时你们蒙了光照以后,忍受了各种苦难的煎熬。 33 有时候,你们在众目睽睽之下被辱骂,受迫害;有时候,你们和遭受这样苦难的人同舟共济。 34 你们体恤那些坐牢的人,即使你们的家业被抢夺,仍然甘心忍受,因为你们知道自己有更美的、永远长存的家业。 35 所以切勿失去勇敢的心,因为勇敢的心会给你们带来大赏赐。 36 你们需要坚忍到底,这样你们遵行了上帝的旨意后,便可以得到祂的应许。
37 因为“将要来临的那位很快要来了,绝不迟延。 38 属我的义人必靠信心而活。他若畏缩退后,我必不喜悦他。” 39 但我们都不是退后走向灭亡的人,而是因为有信心而灵魂得救的人。
希 伯 來 書 10
Chinese New Testament: Easy-to-Read Version
耶稣基督是我们需要的唯一祭献
10 律法只是正在来临的美好事物的一个影子,而不是这些实物的确切形体,所以,律法绝对不会因为年复一年地奉献同样的祭物而使那些崇拜上帝的人们完美。 2 如果律法可以使人们完美,那么这些奉献不是早就该停止了吗?因为崇拜者早就一劳永逸地洗涤了自己的罪恶,不必再为他们的罪孽有负罪感了, 3 然而,那些祭献,年年都在提醒人们想起罪孽, 4 因为公牛和山羊的血是不能除去罪孽的。
5 因此,当基督来到这个世上时,他说:
“你不要祭物和贡品,
而为我准备了一个躯体。
6 你不喜欢焚烧的祭物和赎罪的祭物。
7 于是我说∶‘我在这里!
就像律法书里对我记载的那样。
啊,上帝,我来了,是为了执行你的意旨。’” (A)
8 首先他说∶“你不要、也不喜欢祭物、贡品、焚烧的祭物和赎罪的祭物(尽管律法要求奉献这些东西)。 9 然后他又说∶“我在这里!我来了,是为了执行您的意旨。”他废弃了第一个制度,以便建立起第二个制度。 10 凭上帝的意旨,耶稣基督只牺牲了自己的身体一次,便使得我们永远圣洁。
11 所有的犹太祭司们每天都要肃立和履行自己的宗教职责,并且一次次地奉献同样的祭物,而这些祭物是绝对不能除去罪孽的。 12 但是,基督只为罪孽牺牲了一次,便成就了永远,然后他坐在了上帝的右边。 13 而且,他等待着,直到他的仇敌被变为他的垫脚凳。 14 由于他的这一次奉献,使得那些变得圣洁的人们永远完美。
15 圣灵也向我们证实了这一点,首先他说:
16 “这是自那之后,我将与他们定立的誓约。主说:
我将把我的律法装进他们的大脑,写在他们的心上。” (B)
17 接着他又说:
“我不会再记着他们的罪孽和违法的行为。” (C)
18 在罪孽被宽恕的地方,是不再需要奉献赎罪的祭物的。
接近上帝
19 所以,兄弟姐妹们,我们有信心借助耶稣的血进入至圣处, 20 耶稣通过这个帘幕—即他的血肉之躯,为我们开辟的一条新的、有生命的道路, 21 既然我们有了一位伟大的祭司掌管着上帝的家庭, 22 那么,让我们用真诚的心和坚定的信仰来接近上帝吧,让我们洗净那败坏了的良心,使我们的心灵得到净化;让我们的身体在纯净的水中得到清洗; 23 让我们坚定地坚持我们所表白的希望,因为赐给我们这个诺言的上帝是可信的。
帮助彼此
24 让我们互相关心、激发爱心和鼓励行善, 25 让我们不要像有些人那样,放弃聚会的习惯。互相鼓励吧:既然你们知道那一天 [a]正在来临,就更应该如此了。
不要背离上帝之子
26 如果我们掌握真理之后,仍然故意犯罪,那就不会再有赎罪的祭物了, 27 只有恐怖地等待着判决和将要毁灭那些反对上帝的人们的烈火。 28 只要有两、三个人作证,摒弃摩西律法的人都要被毫不留情地处死, 29 那么,那些践踏上帝之子的人,那些亵渎了契约上的血—他圣洁的血,以及那些侮辱了恩典之灵的人,试想他们该受到多么严厉的惩罚吧! 30 因为我们知道说这话的上帝:
“伸冤在我,我必报应.” (D)
他还说:
“主将审判他的子民。” (E)
31 落入活生生的上帝的手中是件多么可怕的事啊。
保持你们的勇气与耐心
32 记住以往,你们刚受到福音启蒙时,忍受苦难严峻挑战的那些日子吧。 33 有时候你们当众受到羞辱与虐待;有时候你们忠诚地与受到同样遭遇的人共患难。 34 你们不但与坐牢的人共患难,而且满怀喜悦地接受了你们的财产被没收,因为你们知道自己拥有更美好和永恒的财产。
35 不要抛弃你们的勇气,因为它将带给你们巨大的报偿。 36 你们要容忍,这样在你们执行了上帝的意愿后,就会得到上帝所许诺的一切。 37 因为,不需要多久,
“即将到来的人就要来到,
他不会迟延。
38 我的义人靠信仰活着。
如果他退缩,
我不会对他感到喜悦。” (F)
39 我们并不属于那些因退缩而毁灭的人,而是有信仰并得到拯救的人。
Footnotes
- 希 伯 來 書 10:25 那一天: 也许是基督再来的时刻。
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.
Copyright © 2004 by World Bible Translation Center