Add parallel Print Page Options

13 (A)Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna.

Read full chapter

(A)Mukama anyweze ekisuubizo kye gye ndi nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu kkubo lyabwe, era bwe banaatambuliranga mu maaso gange mu mazima n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna, tewalibaawo muntu ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri atali wa mu zzadde lyo.’ 

Read full chapter

29 (A)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
    n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.

30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
    ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
    ne batagondera mateeka gange,
32 (B)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
    ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (C)Naye ssirirekayo kumwagala,
    wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (D)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
    wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
    n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
    ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.

Read full chapter

33 (A)Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”

Read full chapter