2 Samwiri 7:12-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 13 (B)Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 14 (C)Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 15 (D)Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 16 (E)Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”
Read full chapter
Isaaya 9:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.
Isaaya 9:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Okufuga kwe n’emirembe
biryeyongeranga obutakoma.
Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe,
n’okubuwanirira n’obwenkanya n’obutuukirivu
okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
Obumalirivu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
bulikituukiriza ekyo.
Isaaya 11:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
Yeremiya 23:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Ennaku zijja,
lwe ndiyimusiza Dawudi Ettabi ettukuvu,
Kabaka alikulembera n’amagezi
akole ebituufu eby’obwenkanya mu nsi,” bwayogera Mukama.
Yeremiya 23:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mu mirembe gye, Yuda alirokolebwa
ne Isirayiri alibeera mu mirembe.
Lino lye linnya lye balimuyita:
Mukama OBUTUUKIRIVU BWAFFE.
Matayo 9:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Awonya Bamuzibe ne Bakiggala
27 (A)Awo Yesu bwe yava eyo, abazibe b’amaaso babiri ne bamugoberera nga bwe baleekaana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, otusaasire!”
Read full chapter
Lukka 1:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
Read full chapter
Lukka 1:69
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
69 (A)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
Abaruumi 1:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri,
Read full chapter
Okubikkulirwa 22:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”
Read full chapter
Olubereberye 22:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)era mu zzadde lyo amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa, kubanga ogondedde eddoboozi lyange.”
Read full chapter
Abaggalatiya 3:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.