Add parallel Print Page Options

Simeeyi Akolimira Dawudi

(A)Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali. N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono. Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali! (B)Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”

(C)Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya[a] n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.” 10 (D)Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”

11 (E)Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde. 12 (F)Oboolyawo Mukama anaalaba okunakuwala kwange n’ansasula obulungi olw’okukolima okwo.”

13 Awo Dawudi n’abasajja be ne bagenda ku lugendo lwabwe, naye Simeeyi n’ayitira ku lusozi okumwolekera nga bw’akolima, nga bw’amukasuukirira amayinja n’enfuufu.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:9 Zeruyiya yali mwannyina Dawudi, noolwekyo Abisaayi yali mutabani wa Dawudi

(A)“Era jjukira Simeeyi mutabani wa Gera Omubenyamini ow’e Bakulimu ali naawe, kubanga yankolimira mu ngeri enzibu ennyo, ku lunaku lwe nagenderako e Makanayimu. Kyokka bwe yaserengeta okunsisinkana ku Yoludaani ne mulayirira Mukama nti, ‘Sijja kukutta na kitala.’

Read full chapter