2 Samwiri 13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amunoni ne Tamali
13 (A)Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali[a], naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye. 2 Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera[b], Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna. 3 (B)Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju. 4 N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.” 5 Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”
6 Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”
7 Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.” 8 Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba. 9 (C)Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya.
Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali. 10 Amunoni n’agamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali n’addira emigaati gy’afumbye, n’agitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye. 11 (D)Naye bwe yagimusembereza okulya n’amukwata, n’amugamba nti, “Jjangu weebake nange, mwannyinaze.”
12 (E)N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo. 13 (F)Nsaasira, nnadda wa obuswavu? Ate ggwe, onoobeera ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde yogera ne kabaka, tajja kukuziyiza nkufumbirwe.” 14 (G)Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.
15 Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.” 16 Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza. 17 N’ayita omuddu ey’amuweerezanga n’amugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.” 18 (H)Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera. 19 (I)Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba. 20 Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.
21 (J)Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, n’asunguwala nnyo. 22 (K)Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.
Abusaalomu Atta Amunoni
23 (L)Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna. 24 Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.” 25 Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa. 26 Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?” 27 Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 (M)Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.” 29 Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30 Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.” 31 (N)Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.
32 Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. 33 Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.” 34 Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi. 35 Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.” 36 Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.
37 (O)Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38 Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 39 (P)Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.
Footnotes
- 13:1 Tamali yali muwala wa Maaka, omumbejja w’e Gesuli (3:3). Amunoni yali mutabani wa Akinoamu. Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi omukulu, nga Amunoni ye mutabani wa Dawudi omukulu, nga y’ateekwa okusikira Dawudi ku ntebe ey’obwakabaka
- 13:2 Abawala abaali tebannafumbirwa, baabeeranga mu nnyumba z’abakazi nga tebakyalira basajja, newaakubadde okukyalira bannyinaabwe.
2 Samuel 13
21st Century King James Version
13 And it came to pass after this that Absalom the son of David had a fair sister, whose name was Tamar; and Amnon the son of David loved her.
2 And Amnon was so vexed that he fell sick for his sister Tamar; for she was a virgin, and Amnon thought it hard for him to do any thing to her.
3 But Amnon had a friend whose name was Jonadab, the son of Shimeah David’s brother; and Jonadab was a very subtle man.
4 And he said unto him, “Why art thou, being the king’s son, lean from day to day? Wilt thou not tell me?” And Amnon said unto him, “I love Tamar, my brother Absalom’s sister.”
5 And Jonadab said unto him, “Lay thee down on thy bed and make thyself sick; and when thy father cometh to see thee, say unto him, ‘I pray thee, let my sister Tamar come and give me meat, and dress the meat in my sight, that I may see it and eat it at her hand.’”
6 So Amnon lay down and made himself sick; and when the king came to see him, Amnon said unto the king, “I pray thee, let Tamar my sister come and make me a couple of cakes in my sight, that I may eat at her hand.”
7 Then David sent home to Tamar, saying, “Go now to thy brother Amnon’s house, and dress him meat.”
8 So Tamar went to her brother Amnon’s house; and he was lying down. And she took flour and kneaded it, and made cakes in his sight, and baked the cakes.
9 And she took a pan and poured them out before him, but he refused to eat. And Amnon said, “Send out all men from me.” And they went out every man from him.
10 And Amnon said unto Tamar, “Bring the meat into the chamber, that I may eat from thine hand.” And Tamar took the cakes which she had made, and brought them into the chamber to Amnon her brother.
11 And when she had brought them unto him to eat, he took hold of her and said unto her, “Come lie with me, my sister.”
12 And she answered him, “Nay, my brother, do not force me, for no such thing ought to be done in Israel. Do not thou this folly!
13 And I, whither shall I cause my shame to go? And as for thee, thou shalt be as one of the fools in Israel. Now therefore, I pray thee, speak unto the king, for he will not withhold me from thee.”
14 Nevertheless he would not hearken unto her voice; but, being stronger than she, forced her, and lay with her.
15 Then Amnon hated her exceedingly, so that the hatred wherewith he hated her was greater than the love wherewith he had loved her. And Amnon said unto her, “Arise, be gone!”
16 And she said unto him, “There is no cause. This evil in sending me away is greater than the other that thou did unto me.” But he would not hearken unto her.
17 Then he called his servant who ministered unto him and said, “Put now this woman out from me, and bolt the door after her.”
18 And she had a garment of divers colors upon her, for with such robes were the king’s daughters who were virgins appareled. Then his servant brought her out, and bolted the door after her.
19 And Tamar put ashes on her head, and rent her garment of divers colors that was on her, and laid her hand on her head and went on crying.
20 And Absalom her brother said unto her, “Hath Amnon thy brother been with thee? But hold now thy peace, my sister. He is thy brother; regard not this thing.” So Tamar remained desolate in her brother Absalom’s house.
21 But when King David heard of all these things, he was very wroth.
22 And Absalom spoke unto his brother Amnon neither good nor bad; for Absalom hated Amnon, because he had forced his sister Tamar.
23 And it came to pass after two full years that Absalom had sheepshearers in Baalhazor, which is beside Ephraim; and Absalom invited all the king’s sons.
24 And Absalom came to the king and said, “Behold now, thy servant hath sheepshearers; let the king, I beseech thee, and his servants go with thy servant.”
25 And the king said to Absalom, “Nay, my son, let us not all now go, lest we be a burden unto thee.” And he pressed him; however he would not go, but blessed him.
26 Then said Absalom, “If not, I pray thee, let my brother Amnon go with us.” And the king said unto him, “Why should he go with thee?”
27 But Absalom pressed him, so that he let Amnon and all the king’s sons go with him.
28 Now Absalom had commanded his servants, saying, “Mark ye now when Amnon’s heart is merry with wine, and when I say unto you,‘Smite Amnon,’ then kill him. Fear not. Have not I commanded you? Be courageous and be valiant.”
29 And the servants of Absalom did unto Amnon as Absalom had commanded. Then all the king’s sons arose, and every man got himself up upon his mule and fled.
30 And it came to pass, while they were on the way, that tidings came to David, saying, “Absalom hath slain all the king’s sons, and there is not one of them left.”
31 Then the king arose and tore his garments, and lay on the earth; and all his servants stood by with their clothes rent.
32 And Jonadab the son of Shimeah, David’s brother, answered and said, “Let not my lord suppose that they have slain all the young men, the king’s sons, for Amnon only is dead; for by the appointment of Absalom this hath been determined from the day that he forced his sister Tamar.
33 Now therefore let not my lord the king take the thing to his heart, to think that all the king’s sons are dead; for Amnon only is dead.”
34 But Absalom fled. And the young man who kept the watch lifted up his eyes and looked, and behold, there came many people by the way of the hillside behind him.
35 And Jonadab said unto the king, “Behold, the king’s sons come. As thy servant said, so it is.”
36 And it came to pass, as soon as he had made an end of speaking, that behold, the king’s sons came, and lifted up their voice and wept; and the king also and all his servants wept very sorely.
37 But Absalom fled, and went to Talmai the son of Ammihud, king of Geshur. And David mourned for his son every day.
38 So Absalom fled and went to Geshur, and was there three years.
39 And the soul of King David longed to go forth unto Absalom, for he was comforted concerning Amnon, seeing he was dead.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Copyright © 1994 by Deuel Enterprises, Inc.