Add parallel Print Page Options

Okufa kwa Abusaalomu

18 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. (A)Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”

(B)Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”

Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. (C)Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.

(D)Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10 Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 11 (E)Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”

12 Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 13 (F)Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”

14 (G)Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 15 (H)N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.

16 (I)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 17 (J)Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.

18 (K)Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.

Dawudi Akungubagira Abusaalomu

19 (L)Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”

21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”

Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.

24 (M)Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25 Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.

26 (N)Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”

27 (O)Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”

28 Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”

29 Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”

30 Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.

31 Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”

32 (P)Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”

33 (Q)Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, olw’okwagala kwa Katonda, mpandiikira abatukuvu abali mu Efeso, era abakkiririza mu Kristo Yesu.

(B)Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe.

Emikisa mu Kristo

(C)Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, atuwadde mu Kristo buli mukisa gwonna ogw’omwoyo oguva mu ggulu. (D)Yatulonda okubeera mu Kristo ng’ensi tennatondebwa, ffe tube batukuvu, abataliiko kya kunenyezebwa mu maaso ge, olw’okwagala kwe. (E)Olw’okwagala kwe, yatuteekateeka tubeere abaana be mu Yesu Kristo, ng’okusiima kwe bwe kuli. (F)Katonda tumutendereze olw’ekisa kye yatuwa obuwa mu Mwana, gw’ayagala ennyo. (G)Mu oyo mwe tununulibwa olw’omusaayi gwe, ne tusonyiyibwa ebibi, ng’obugagga bw’ekisa kye bwe buli, kye yatuwa mu bungi mu magezi gonna ne mu kutegeera kwonna. (H)Yatubikkulira ekyama eky’okwagala kwe, ng’okusiima kwe bwe kuli kwe yateekerateekera mu Kristo. 10 (I)Olwo ekiseera ekituufu bwe kirituuka, Katonda alikola byonna bye yateekateeka, n’ateeka ebintu byonna awamu wansi wa Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.

11 (J)Era mu ye mwe twaweerwa obusika ne twawulibwa ng’enteekateeka bw’eri ey’oyo akola ebintu byonna okusinziira ku magezi ag’okwagala kwe; 12 (K)ffe Abayudaaya tulyoke tumuleetere okugulumizibwa, ffe abaasooka okuba n’essuubi mu Kristo. 13 (L)Nammwe, Kristo yabaleeta eri amazima, kye kigambo eky’Enjiri ey’okulokolebwa kwammwe. Bwe mwamukkiriza, ne muteekebwako envumbo eya Mwoyo Mutukuvu eyasuubizibwa, 14 (M)gwe musingo gw’obusika bwaffe, okutuusa bw’alinunula abantu be, ne Katonda n’agulumizibwa era n’atenderezebwa.

Okusaba kwa Pawulo

15 (N)Noolwekyo okuva lwe nawulira okukkiriza kwe mulina mu Mukama waffe Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, 16 (O)sirekangayo kwebaza Katonda ku lwammwe. Mbajjukira 17 (P)ne mbasabira, Katonda wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ow’amagezi n’okubikkulirwa mweyongere okumutegeera. 18 (Q)Nnyongera okubasabira, amaaso g’emitima gyammwe gamulisibwenga, mulyoke mumanye essuubi ly’okuyitibwa kwammwe, n’obugagga obungi bwe mulina mu ye, mmwe awamu n’abantu ba Katonda bonna. 19 (R)Njagala mutegeere amaanyi ge agasukkiridde agakolera mu ffe abakkiriza, ng’okukola kw’obuyinza bw’amaanyi ge bwe kuli, 20 (S)amaanyi ago ge yakozesa mu Kristo bwe yamuzuukiza mu bafu, n’amutuuza ku mukono gwe ogwa ddyo waggulu mu ggulu. 21 (T)Waggulu eyo, Kristo gy’afugira obufuzi bwonna, n’obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna, n’obwami bwonna, na buli kitiibwa kyonna ekiweebwa omuntu. Afugira mu mulembe guno, era alifugira ne mu mulembe ogugenda okujja. 22 (U)Katonda atadde ebintu byonna wansi w’ebigere bye, n’afuula Kristo omutwe gw’ebintu byonna eby’ekkanisa, 23 era ekkanisa gwe mubiri gwe ye yennyini, mwatuukiririza ebintu byonna.