2 Ebyomumirembe 35:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.
Read full chapter
Omubuulizi 12:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)nga batya buli kiwanvu
n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
n’abakungubazi ne babuna enguudo.
Amosi 5:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
“Walibeerawo okwaziirana mu nguudo
n’okukaaba mu buli kibangirizi eky’omu kibuga.
N’abalimi baliyitibwa, bakaabe,
n’abakungubazi bakube ebiwoobe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.