Add parallel Print Page Options

23 (A)Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.

Read full chapter

12 (A)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
    abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 45:12 Kabaka w’e Tuulo ye kabaka eyasooka okukkiriza enju ya Dawudi okulya entebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri. Sulemaani yasigaza omukwano ogwo ne kabaka w’e Tuulo, era Tuulo kyali kibuga ky’aby’amaguzi kikulu ku Nnyanja Ennene eya Meditereniyaani.

29 (A)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.

Read full chapter

10 (A)Bakabaka b’e Talusiisi[a] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[b]
    bamutonerenga ebirabo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 72:10 Talusiisi kyali mu Esupaniya, era eyo ye yalowoozebwa okuba enkomerero y’ensi.
  2. 72:10 Syeba kiri mu Buwalabu, ate Seeba kiri mu Afirika.

(A)Mu kiseera ekyo Mukama Katonda ow’Eggye balimuleetera ebirabo,

ensi ey’abantu abawanvu ab’emibiri emiweweevu,
    abantu abatiibwa abeewala n’abookumpi,
ensi ey’eryanyi,
    eyawulwamu emigga,

ku lusozi Sayuuni ekifo ky’erinnya lya Mukama Ayinzabyonna.

Read full chapter