Add parallel Print Page Options

Okusiibula n’omukisa

11 (A)Ebisigadde abooluganda, mujaguze, muzibwemu amaanyi, mulowooze bumu, mubeere n’emirembe, Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabeeranga nammwe.

12 (B)Mulamusagane n’okulamusa okutukuvu.

13 (C)Abatukuvu bonna babalamusizza.

14 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n’okwagala kwa Katonda, n’okussekimu okwa Mwoyo Mutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.

Read full chapter