Add parallel Print Page Options

24 (A)Mu biro ebyo, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba, era n’afuula Yekoyakimu omuddu we okumala emyaka esatu. Naye Yekoyakimu oluvannyuma n’ajeema, n’akola olutalo ku Nebukadduneeza.

Read full chapter

15 (A)Bamuwulugumirako ng’empologoma bw’ewuluguma,
    abalabe bawulugumye nnyo.
Ensi ye efuuse matongo,
    ebibuga bye bigyiridde ddala omuliro birekeddwa ttayo, nga temukyali muntu n’omu.

Read full chapter

(A)Ensi yammwe esigadde matongo,
    ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,
nga nammwe bennyini mulaba.
    Bannamawanga[a] balidde ensi yammwe,
    era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:7 Kino kyogera ku kulumbibwa kw’abantu b’omu Bwasuli mu biro bya Sennakeribu (2Bk 18:13).

(A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.

Read full chapter