A A A A A
Bible Book List

2 Bassekabaka 18:13-19 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

13 Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba ebibuga byonna ebyaliko bbugwe ebya Yuda, n’abiwamba. 14 Awo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aweereza obubaka eri kabaka w’e Bwasuli e Lakisi ng’agamba nti, “Nnyonoonye mu maaso go; ddayo ondeke. Nnaakusasula byonna by’ononsalira.” Kabaka w’e Bwasuli n’awooza ku Keezeekiya kabaka wa Yuda ttani kkumi eza ffeeza ne ttani emu eya zaabu. 15 Keezeekiya n’amuwa ffeeza yonna eyali mu yeekaalu ya Mukama n’eyo eyali mu mawanika ag’omu lubiri.

16 Mu kiseera ekyo Keezeekiya kabaka wa Yuda n’aggyako zaabu gwe yali atadde ku nzigi ne ku minyolo egya yeekaalu ya Mukama, n’amuwa kabaka w’e Bwasuli.

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

17 Kabaka w’e Bwasuli n’atuma Talutani, omuduumizi we ow’oku ntikko, Labusalisi, omukulu wa bakungu, ne Labusake omuduumizi we alwanira ku ttale n’eggye eddene, okuva e Lakisi okugenda ewa kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi. Ne batuuka e Yerusaalemi, ne bakoma awali olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu[a] ekiri ku kkubo ery’Ennimiro ey’Omwozi w’Engoye. 18 Awo ne bayita kabaka, naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali ssabakaaki, Sebuna omuwandiisi ne Yowa mutabani wa Asafu omujjukiza ne bagenda gye bali.

19 Awo Labusake n’abagamba nti, “Mutegeeze Keezeekiya nti,

“ ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki kye weesiga?

Footnotes:

  1. 18:17 Ekidiba eky’engulu kye kidiba ekyasimibwa Keezeekiya okuggyanga amazzi okuva oluzzi Gikoni we lutandikira.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Isaaya 36:1 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

36 Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Isaaya 37:9 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti,

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Isaaya 37:17 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

17 Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu by’aweerezza okuvuma Katonda omulamu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

Isaaya 37:37 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

37 Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’avaayo n’addayo n’abeera e Nineeve.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes