Add parallel Print Page Options

Abayisirayiri Babeera awamu n’Abasuuli

24 (A)Awo kabaka w’e Bwasuli n’akuŋŋaanya abantu okuva e Babulooni, Kusa, Ava, Kamasi ne Sefavayimu, n’abaleeta mu bibuga bya Samaliya, Abayisirayiri mwe baabeeranga, Samaliya ne bakitwalira ddala era ne babeera mu bibuga byakyo.

Read full chapter

52 (A)N’atuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga ky’Abasamaliya okumutegekera.

Read full chapter

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (A)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (B)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (C)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (D)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (E)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (F)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (G)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (H)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (I)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (J)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (K)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (L)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (M)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (N)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (O)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

Read full chapter

Abasamaliya bangi bakkiriza

39 (A)Abasamaliya bangi ab’omu kibuga abaamukkiririzaamu olw’ebyo omukazi bye yabategeeza, ng’abagamba nti, “Antegeezezza buli kye nnali nkoze!”

Read full chapter

40 Awo Abasamaliya bwe bajja eri Yesu ne bamwegayirira yeeyongere okubeera nabo, n’abeera nabo ennaku bbiri.

Read full chapter

(A)Awo Firipo, n’alaga mu kimu ku bibuga bya Samaliya n’abuulira abantu Enjiri ya Kristo.

Read full chapter

25 (A)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.

Read full chapter