Add parallel Print Page Options

19 (A)Kyokka ne Yuda ne batakuuma mateeka ga Mukama Katonda waabwe, naye ne bagoberera empisa za Isirayiri.

Read full chapter

(A)Mukama alina ensonga ne Yuda,
    era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
    Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.

Read full chapter

19 (A)Wuliriza, ggwe ensi:
laba, ndeeta akabi ku bantu bano,
    by’ebibala by’enkwe zaabwe,
kubanga tebafuddeeyo ku bigambo byange
    n’etteeka lyange baligaanye.

Read full chapter

24 (A)kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.

Read full chapter

16 (A)Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza,
    n’abo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.

Read full chapter

15 (A)Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, “Twakola endagaano n’okufa, era twalagaana n’amagombe. Ekikangabwa eky’amaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.”

Read full chapter

13 (A)“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”

Read full chapter

12 (A)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.

Read full chapter