Add parallel Print Page Options

(A)Buli omu akola nga bw’asazeewo mu mutima gwe, si lwa nnaku, newaakubadde olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu. (B)Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi, (C)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Yasaasaanya, yagabira abaavu.
    Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.”

Read full chapter