Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

Isubosesi Attibwa

(A)Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng’afiiridde e Kebbulooni, n’aggwaamu essuubi, ne Isirayiri yenna ne beeraliikirira. (B)Mutabani wa Sawulo oyo yalina abasajja be babiri, bombi nga baduumizi ba bibinja, omu nga ye Baana, n’owokubiri nga ye Lekabu. Baali batabani ba Limmoni Omubeerosi ng’ava mu kika kya Benyamini, kubanga Beerosi kyabalibwanga okuba ekimu ki bitundu bya Benyamini, (C)engeri abantu ab’e Beerosi bwe baddukira e Gittayimu, ne babeera eyo na guno gujwa.

(D)Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana owoobulenzi eyalemala ebigere. Yalina emyaka etaano egy’obukulu, amawulire agakwata ku kufa kwa Sawulo ne Yonasaani bwe gaasaasaanyizibwa okuva mu Yezuleeri. Naye eyamulabiriranga bwe yamusitula, ng’adduka okumuwonya, omwana n’agwa n’alemala. N’erinnya lye ye yali Mefibosesi.

(E)Awo Lekabu ne Baana batabani ba Limmoni Omubeerosi, ne balaga Isubosesi gye yabeeranga, ne batuuka mu ssaawa ez’etuntu, ne bamusanga ng’awummuddeko. (F)Ne bagenda mu kisenge eky’omunda ne baba ng’abajja okukima eŋŋaano, ne bamufumita mu lubuto, ne badduka.

Bwe bayingira mu nnyumba, baamusanga agalamidde ku kitanda mu kisenge kye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako n’omutwe. Ne batwala omutwe gwe, ne batambula ekiro kyonna mu kkubo erya Alaba. (G)Omutwe gwa Isubosesi ne bagutwalira Dawudi e Kebbulooni, ne bamugamba nti, “Omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo, eyayagala okukutta, guuguno. Leero Mukama awalanye eggwanga lya mukama waffe kabaka ku Sawulo n’ezzadde lye.”

(H)Naye Dawudi n’addamu Lekabu ne muganda we Baana, batabani ba Limmoni Omubeerosi nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, alokodde obulamu bwange mu kibi kyonna, 10 (I)omuntu bwe yaŋŋamba nti, ‘Sawulo afudde,’ n’alowooza nti yali andetedde amawulire amalungi, namukwata ne muttira e Zikulagi, era eyo ye yali empeera ye olw’amawulire ge yaleeta. 11 (J)Mulowooza nga tekirisingawo eri abasajja ababi abattidde omusajja ataliiko musango mu nnyumba ye, ku kitanda kye, ne nvunaana omusaayi gwe ku mmwe era ne mbazikiriza okuva ku nsi?”

12 (K)Awo Dawudi n’alagira abavubuka be, okutta abasajja abo. Ne babasalako engalo n’ebigere ne bawanika ebiwuduwudu okumpi n’ekidiba e Kebbulooni. Naye ne baddira omutwe gwa Isubosesi, ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.

Ish-Bosheth Murdered

When Ish-Bosheth son of Saul heard that Abner(A) had died in Hebron, he lost courage, and all Israel became alarmed. Now Saul’s son had two men who were leaders of raiding bands. One was named Baanah and the other Rekab; they were sons of Rimmon the Beerothite from the tribe of Benjamin—Beeroth(B) is considered part of Benjamin, because the people of Beeroth fled to Gittaim(C) and have resided there as foreigners to this day.

(Jonathan(D) son of Saul had a son who was lame in both feet. He was five years old when the news(E) about Saul and Jonathan came from Jezreel. His nurse picked him up and fled, but as she hurried to leave, he fell and became disabled.(F) His name was Mephibosheth.)(G)

Now Rekab and Baanah, the sons of Rimmon the Beerothite, set out for the house of Ish-Bosheth,(H) and they arrived there in the heat of the day while he was taking his noonday rest.(I) They went into the inner part of the house as if to get some wheat, and they stabbed(J) him in the stomach. Then Rekab and his brother Baanah slipped away.

They had gone into the house while he was lying on the bed in his bedroom. After they stabbed and killed him, they cut off his head. Taking it with them, they traveled all night by way of the Arabah.(K) They brought the head(L) of Ish-Bosheth to David at Hebron and said to the king, “Here is the head of Ish-Bosheth son of Saul,(M) your enemy, who tried to kill you. This day the Lord has avenged(N) my lord the king against Saul and his offspring.”

David answered Rekab and his brother Baanah, the sons of Rimmon the Beerothite, “As surely as the Lord lives, who has delivered(O) me out of every trouble, 10 when someone told me, ‘Saul is dead,’ and thought he was bringing good news, I seized him and put him to death in Ziklag.(P) That was the reward I gave him for his news! 11 How much more—when wicked men have killed an innocent man in his own house and on his own bed—should I not now demand his blood(Q) from your hand and rid the earth of you!”

12 So David gave an order to his men, and they killed them.(R) They cut off their hands and feet and hung the bodies by the pool in Hebron. But they took the head of Ish-Bosheth and buried it in Abner’s tomb at Hebron.