1 Samwiri 22:17-20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Awo kabaka n’alagira abaserikale abaali bamuyimiridde okumpi, nti, “Mutte bakabona ba Mukama, kubanga nabo bassa kimu ne Dawudi. Baategeera ng’adduka, naye ne batantegeeza.”
Naye ne wataba n’omu ku baserikale ba kabaka eyayaŋŋanga okugolola omukono gwe okutta bakabona ba Mukama.
18 (B)Awo kabaka n’alyoka alagira Dowegi nti, “Ggwe bakkeeko obatte.” Awo Dowegi Omwedomu n’abakkako n’abatta, era olunaku olwo n’atta abasajja kinaana mu bataano abaayambalanga ekkanzu ey’obwakabona eza bafuta. 19 (C)N’atta n’ekitala abatuuze bonna ab’e Nobu, abasajja, n’abakazi, n’abaana abatoototo, n’abaana abawere, era n’ente, n’endogoyi, n’endiga ebyali mu kibuga kya bakabona.
20 (D)Naye Abiyasaali omu ku batabani ba Akimereki, muzzukulu wa Akitubu n’awona n’addukira eri Dawudi.
Read full chapter
1 Samuel 22:17-20
New International Version
17 Then the king ordered the guards at his side: “Turn and kill the priests of the Lord, because they too have sided with David. They knew he was fleeing, yet they did not tell me.”
But the king’s officials were unwilling(A) to raise a hand to strike the priests of the Lord.
18 The king then ordered Doeg, “You turn and strike down the priests.”(B) So Doeg the Edomite turned and struck them down. That day he killed eighty-five men who wore the linen ephod.(C) 19 He also put to the sword(D) Nob,(E) the town of the priests, with its men and women, its children and infants, and its cattle, donkeys and sheep.
20 But one son of Ahimelek son of Ahitub,(F) named Abiathar,(G) escaped and fled to join David.(H)
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Holy Bible, New International Version®, NIV® Copyright ©1973, 1978, 1984, 2011 by Biblica, Inc.® Used by permission. All rights reserved worldwide.
NIV Reverse Interlinear Bible: English to Hebrew and English to Greek. Copyright © 2019 by Zondervan.