1 Samwiri 14:4-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ku buli ludda lw’ekkubo Yonasaani mwe yali ayagala okuyita okutuuka ku nkambi y’Abafirisuuti waaliyo enkonko empanvu, olumu nga luyitibwa Bozezi, n’olulala nga luyitibwa Sene. 5 Olukonko olumu lwali ku luuyi olw’obukiikakkono okwolekera Mikumasi, n’olulala nga luli ku luuyi olw’obukiikaddyo okwolekera Geba. 6 (B)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.
7 Omuvubuka n’amuddamu nti, “Kola nga bw’osiima. Genda mu maaso, nzisa kimu naawe, omutima gwange n’omwoyo gwange biri wamu naawe.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.